Ezekiel 16:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ettutumu lyo ne lisaasaana mu mawanga olw'obulungi bwo, kubanga wali oteredde bulungi olw'ekitangaala kyange kye nali nkozesezza okukuwunda, Omukama Katonda y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ettutumu lyo lyabuna mu mawanga olw’obulungi bwo, kubanga nakuwa ekitiibwa kyange, bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ettutumu lyo ne libuna mu mawanga olw'obulungi bwo, obwali busukkiridde lw'ebyo bye nakukolako. bw'ayogera Mukama Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'oba wa ttutumu mu mawanga gonna olw'obulungi bw'endabika yo, obwali busukkiridde olw'ebyo bye nakukolako.” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ettutumu lyo ne lyatiikirira mu mawanga olw'obulungi bwo; kubanga bwali butuukiridde olw'obukulu bwange bwe nnali nkutaddeko bw'ayogera Mukama Katonda.