Ezekiel 16:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Naye weeyinula obulungi bwo, ne weeyamba ettutumu lyo okukola obwamalaaya, obwenzi bwo n'obugabulira buli eyayitangawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Naye weesiga obulungi bwo, n’okozesa ettutumu lyo okukola obwenzi, n’ofuka obukaba bwo ku buli eyayitangawo obulungi bwo ne bufuuka bubwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naye ggwe ne weesiga obulungi bwo, n'okozesa ettutumu lyo n'okola obwenzi, n'okabawaliranga ku buli muntu eyayitangawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye ggwe weeyinula obulungi bwo n'ettutumu lyo, n'okola obwamalaaya, n'okabawaliranga ku buli muntu ayitawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ggwe ne weesiga obulungi bwo, ne weefuula omwenzi olw'ettutumu lyo, n'ofuka obukaba bwo ku buli muntu eyayitangawo; bwabanga bubwe.