Ezekiel 16:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waddira n'amagemu ag'omuwendo ge nakuwa, aga zaabu wange ne ffeeza wange, ne weekolera ebifaananyi bya balubaale abasajja n'okola nabyo obwamalaaya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate era waddira emikuufu emirungi gye nnali nkuwadde, egyakolebwa mu zaabu n’effeeza bye nakuwa, ne weekolera bakatonda abalala abali mu bifaananyi eby’ekisajja, bw’otyo n’okola eby’obwenzi nabyo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ate era waddira eby'obuyonjo bwo ebyange ebirungi ebya zaabu n'ebya ffeeza bye nakuwa ne weekoleramu ebifaananyi eby'abasajja n'oyenda ku byo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waddira ebirungi eby'okwewoomya ebya zaabu n'ebya ffeeza bye nakuwa, ne weekoleramu ebifaananyi eby'abasajja, n'ogenda nabyo n'obisinza, nze kye mbala nti wayenda nabyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'okuddira n'oddira eby'obuyonjo bwo ebirungi ebya zaabu yange n'ebya ffeeza yange bye nnali nkuwadde, ne weekolera ebifaananyi by'abantu, n'oyenda ku byo: