Ezekiel 16:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waddira engoye eza langi entobeke n'obyambaza, n'obiwongera omuzigo n'obubaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’oddira ebyambalo byo ebiriko emidalizo n’obibikkako, n’oteeka omuzigo gwange n’obubaane bwange mu maaso gaabyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'oddira ebyambalo byo eby'akolebwa obulungi n'obibikkako n'oteeka amafuta gange n'obubaane bwange mu maaso gaabyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'otwala engoye ezirukiddwa obulungi, ze nakuwa, n'obikka ebifaananyi ebyo, n'obitonera n'omuzigo n'obubaane bwange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'oddira ebyambalo byo eby'eddalizi, n'obibikkako n'oteeka amafuta gange n'obubaane bwange mu maaso gaabyo.