Ezekiel 16:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Waddira batabani bo ne bawala bo be wanzaalira n'obabitambirira bibalye. Awo obwenzi bwo bwali tebumala?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Waddira batabani bo ne bawala bo be wanzaalira, n’obawaayo ng’ebiweebwayo eby’emmere eri bakatonda abalala. Obwenzi bwe wakola bwali tebumala?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate waddira abaana bo ab'obulenzi n'ab'obuwala, be wanzaalira, n'obawaayo okuba ssaddaaka eri ebifaananyi byo okuliibwa. Obwenzi bwo kyali kigambo kitono,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“ ‘Era watoola abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala be wanzaalira, n'obawaayo babe ebitambiro eri ebifaananyi ebyo. Obutali bwesigwa bwo obwo walaba nga kintu kitono,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate waddira abaana bo ab'obulenzi n'ab'obuwala, be wanzaalira, abo n'obawaayo okuba ssaddaaka eri byo okuliibwa. Obwenzi bwo kyali kigambo kitono,