Ezekiel 16:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wakola obwamalaaya n'Abamisiri, baliraanwa bo ab'amaddu amayitirivu, obwenzi bwo n'obwongera obungi onnyiize.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weetaba mu bwenzi ne baliraanwa bo abakaba Abamisiri, n’oyongera ku bukaba bwo n’onsunguwaza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era oyenze ku Bamisiri, baliraanwa bo abakaba ennyo, n'oyongera ku bwenzi bwo okunsunguwaza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era oyenze ne ku Bamisiri baliraanwa bo abalina amaddu g'omubiri amangi, ne weeyongera mu bwamalaaya, okunsunguwaza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oyenze ku Bamisiri, baliraanwa bo, ab'omubiri omunene; n'oyongera ku bwenzi bwo okunsunguwaza.