Ezekiel 16:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyennava nkugololerako omukono gwange, ne nkendeeza ku mugabo gwo, ne nkuwaayo mu buluvu bw'abalabe bo, bawala b'Abafilisitiini, abaakwatibwa ensonyi olw'enneeyisa yo eŋŋwenyufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyenava nkugololerako omukono gwange ne nkendeeza ku nsalo yo, ne nkuwaayo eri omululu gw’abalabe bo abawala b’Abafirisuuti, abeekanga olw’obukaba bwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kaakano nkugololeddeko omukono gwange okukubonereza, era nkendeezezza emmere yo eya bulijjo, ne nkuwaayo eri abakukyawa bakukole kye bagala, abawala b'Abafirisuuti abakwatiddwa ensonyi olw'ebikolwa byo eby'obukaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale kaakano ngolodde omukono gwange okukubonereza, era nkendeezezza ku mugabo gwo, ne nkuwaayo eri abakukyawa bakukoleko kye baagala, be Bafilistiya abo, abakwatibwa ensonyi olw'ebikolwa byo eby'obukaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, laba, nkugololeddeko omukono gwange, era nkendeezezza emmere yo eya bulijjo, ne nkuwaayo eri okwagala kw'abo abakukyawa, abawala b'Abafirisuuti abakwatiddwa ensonyi ekkubo lyo ery'obukaba.