Ezekiel 16:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era wakola obwamalaaya n'Abassuri kubanga ggwe tomatira; ne bwe wakola obwamalaaya era tewamatira,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weetaba mu bikolwa eby’obwenzi n’Abasuuli, kubanga tewamalibwa, ate n’oluvannyuma lw’ekyo n’otamatira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'oyenda ku Basuuli, kubanga tewayinza kumatira, weewaawo, oyenze ku bo, era nabo ne batakumatiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Oyenze ne ku Bassiriya, kubanga toyinza kumatira. Ddala oyenze ku bo, naye era nabo ne batakumatiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'oyenda ku Basuuli, kubanga tewayinza kukkuta; weewaawo, oyenze ku bo, era naye tewanyiwa.