Ezekiel 16:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
obwenzi bwo n'obwongera obungi okutuusa ne mu nsi y'abasuubuzi eya Kaludeya, naye era ne ku luno tewamatira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’oluvannyuma n’oyongerayo ebikolwa byo eby’obukaba mu Bakaludaaya, ensi ey’ebyamaguzi, naye era n’otamalibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate weeyongera okwenda ku Bakaludaaya, ensi y'abasuubuzi, era n'osigala nga tomatidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne weeyongera okukola obwamalaaya mu Bukaludaaya, ensi y'abasuubuzi, era n'osigala nga tomatidde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate wayongera ku bwenzi bwo mu nsi ya Kanani okutuusa e Bukaludaaya; era naye n'obwo tebwakunyiya.