Ezekiel 16:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bagambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba ku Yeruzaalemu: Ensibuko n'obuzaale bwo bya mu nsi y'e Kanaani; kitaawo yali Mwamori ne nnyoko Mukitti.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri Yerusaalemi: Wasibuka era n’ozaalibwa mu nsi ey’Abakanani; Kitaawo yali Mwamoli, ne nnyoko nga Mukiiti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
oyogere nti Bw'ati Mukama Katonda bw'agamba Yerusaalemi nti, Okuzaalibwa kwo n'ekika kyo bya mu nsi ey'omu Kanani; Omwamoli ye yali Kitaawo, ne nnyoko yali Mukiiti.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
okigambe nti: ‘Mukama Afugabyonna akugamba ggwe Yerusaalemu nti wazaalibwa era osibuka mu nsi y'e Kanaani. Kitaawo yali Mwamori, ne nnyoko yali Muhiiti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oyogere nti Bw'ati Mukama Katonda bw'agamba Yerusaalemi nti Okuzaalibwa kwo n'ekika kyo bya mu nsi ey'omu Kanani; Omwamoli ye yali Kitaawo, ne nnyoko yali Mukiiti.