Ezekiel 16:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe wessiza ekituuti mu buli masaŋŋanzira, n'ekifo ekigulumivu mu buli luggya, tewakola nga malaaya, kubanga okusasulibwa wakunyooma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe wazimba ebifo byo ebigulumivu buli luguudo we lusibuka, n’oteeka amasabo go mu buli kibangirizi ekigazi, tewafaanana ng’omwenzi kubanga wanyoomanga empeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga ozimba ebifo byo ebikulumbala buli luguudo we lutandikira, n'okola ebifo byo ekigulumivu mu buli luguudo; so nno tewafaanana ng'omukazi omwenzi kubanga wanyoomanga empeera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga ozimba buli luguudo we lutandikira ebifo ebigulumivu eby'okusinzizaamu ebitali Nze Katonda, okoleremu obwamalaaya. Sso nno nga tonoonya nsimbi ng'omukazi malaaya eyeetunda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga ozimba ebifo byo ebikulumbala buli luguudo we lusibuka, n'okola ekifo kyo ekigulumivu mu buli luguudo; so tobanga nga mukazi mwenzi kubanga onyooma empeera.