Ezekiel 16:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bwenzi bwo oli wa ngeri ku bakazi abalala; teri ajja akunoonyaako bwamalaaya bwo; ggwe oli wa ngeri, ggwe osasula, teri kikusasulibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era mu bikolwa byo eby’obwenzi tofaanana ng’abalala; tewali akusindika kukola bwenzi. Oli wanjawulo okuva ku balala kubanga osasula empeera, naye ate nga tewali akusasula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era oli wanjawulo ku bakazi abalala abenzi, kubanga tewali akuwaliriza ggwe okwenda, wabula ggwe ogulirira so toweebwa mpeera kyova obeera ow'enjawulo!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oli wanjawulo ku bakazi abalala abenzi, kabanga tewali akuwaliriza ggwe okwenda, wabula ggwe ogulirira abasajja, sso si bo kukusasula, kyova obeera malaaya owenjawulo!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era osobezza ensobya bbiri abakazi abalala mu bwenzi bwo, kubanga tewali akugoberera ggwe okwenda: era kubanga ogulirira so toweebwa mpeera kyova osobya ensobya ebbiri.