Ezekiel 16:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda kino ky'agamba: Kubanga wayiwaayiwa obugagga bwo ne weereka bwereere mu bwenzi bwo ne baganzi bo, n'olw'ebifaananyi byo byonna ebya balubaale ebyenyinyalwa n'olw'omusaayi gw'abaana bo gwe wabawa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Olw’obugagga bwo bwe walaga, n’oyanika obwereere bwo wakati mu baganzi bo ng’okola ebikolwa eby’obwenzi, n’olwa bakatonda bo abalala ab’ekivve, n’okuwaayo omusaayi gw’abaana bo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Kubanga weeyambulamu engoye zo n'oyanika obwereere bwo olw'obwenzi bwo bwe wayenda ku baganzi bo; era olw'ebifaananyi byonna eby'emizizo n'olw'omusaayi gw'abaana bo gwe wabawa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Weeyambulamu engoye era olw'obwenzi bwo ne weewa baganzi bo, n'ebifaananyi ebyenyinyalwa by'osinza era bye watambirira abaana bo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kubanga empitambi yo yafukirwa ddala, n'obwereere bwo ne bubikkulwako olw'obwenzi bwo bwe wayenda ku baganzi bo; era olw'ebifaananyi byonna eby'emizizo gyo n'olw'omusaayi gw'abaana bo gwe wabawa;