Ezekiel 16:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nzija kukuŋŋaanya baganzi bo bonna, be weesanyusizangako, bonna be wayagala wamu n'abo bonna be wakyawa. Nzija kubaggya yonna mbakukuŋŋaanyizeeko, nkuleke bwereere mu maaso gaabwe, balabe obwereere bwo bwonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kyendiva nkuŋŋaanya baganzi bo bonna, be wasinza, bonna be wayagala ne be wakyawa, gy’oli ne bakwetooloola, ne nkufungulirira mu maaso gaabwe, balabe obwereere bwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale, laba, ndikuŋŋaanya baganzi bo bonna be wasanyuka nabo, n'abo bonna be wayagala, wamu n'abo bonna be wakyawa; ndibakuŋŋaanya okulwana naawe enjuyi zonna, era ndibabikkulira obwereere bwo, bonna balabe obwereere bwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olw'ebyo, ndikuŋŋaanya baganzi bo bonna be wasanyuka nabo, abo bonna be wayagala, wamu n'abo bonna be wakyawa. Ndikwambulamu engoye zo bakulabe ng'oli bwereere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale, laba, ndikuŋŋaanya baganzi bo bonna be wasanyuka nabo, n'abo bonna be wayagala, wamu n'abo bonna be wakyawa; okukuŋŋaanya ndibakuŋŋaanya okulwana naawe enjuyi zonna, era ndibabikkulira obwereere bwo, bonna balabe obwereere bwo.