Ezekiel 16:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku lwe wazaalibwa, akalira ko tekaasalibwa, era tewanaazibwa mu mazzi otukule, tewasiigibwa na munnyo era tewazingibwa mu ngozi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku kwe wazaalirwa, tewasalibwa kkundi, so tewanaazibwa na mazzi kutukula, newaakubadde okusiigibwa omunnyo, newaakubadde okubikkibwa mu ngoye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku kwe wazaalirwa, tewasalibwa kalira, era tewanaazibwa na mazzi okukutukuza; tewasiigibwa munnyo, newakubadde okubikkibwako obugoye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe wazaalibwa, tewasalibwa kalira, era tewanaazibwa na mazzi kukutukuza. Tebaakusiiga munnyo, wadde okukubikkako obugoye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era eby'okuzaalibwa kwo ku lunaku kwe wazaalirwa tewasalibwa kalira, so tewanaazibwa na mazzi okukutukuza; tewateekebwamu munnyo n'akatono, so tewabikkibwako n'akatono.