Ezekiel 16:42 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo obusungu bwange ku ggwe bulikkakkana, n'obuggya bwange buligenda ne bukuvaako, nditeeka nga sikyasunguwala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’oluvannyuma obusungu bwange bulikendeera, n’obuggya bwange bulikuvaako, era ndiba mukkakkamu, nga sirina busungu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe ntyo bwe ndikumalirako ekiruyi kyange, n'obuggya bwange bulikuvaako, ne ntereera ne siddamu kukusunguwalira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe ntyo bwe ndikumalirako ekiruyi kyange kye mpulira olw'okukububira, ne ntereera, ne siddamu kukusunguwalira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe ntyo bwe ndikkusa ekiruyi kyange ku ggwe, n'obuggya bwange bulikuvaako, ne ntereera ne ssibaako busungu nate.