Ezekiel 16:43 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga tewajjukira nnaku za buvubuka bwo, onsunguwazza na bino byonna; by'okoze bino byonna nzija kubissa ku mutwe gwo, Omukama Katonda y'agamba. Ku bikolwa byo byonna ebyenyinyalwa tewagattako n'obugwenyufu bwo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Kubanga tojjukira biseera eby’obuvubuka bwo, n’onnyiiza n’ebintu ebyo byonna; kyendiva nkuleetako omusango olw’ebikolwa byo, bw’ayogera Mukama Katonda. Ku bukaba obwo bwonna si kwe wayongera ebikolwa ebyo byonna eby’ekivve?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga tojjukiranga nnaku za buto bwo, naye n'onnyiiza mu bino byonna; nange kyendiva nkuvunaana olw'ebyo byonna, bw'ayogera Mukama Katonda: so tolyongera bukaba obwo ku mizizo gyo gyonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olw'okwerabira bye nakukolera mu buto bwo, n'onnyiiza mu bino byonna, kyendiva mbikuvunaana. Wakola bubi nnyo okugatta obwenzi ku byenyinyalwa byonna bye wakola!” Ebyo Mukama Afugabyonna ye abyogera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga tojjukiranga nnaku za buto bwo, naye n'onnyiiza mu bino byonna; kale, laba, nange ndireeta ekkubo lyo ku mutwe gwo, bw'ayogera Mukama Katonda: so tolyongera bukaba obwo ku mizizo gyo gyonna.