Ezekiel 16:44 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Buli yenna aligera olugero, alirugerera ku ggwe nti: “Omwana yafaanana nnyina.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Buli agera engero anaakugereranga olugero luno nga boogera nti, “Nnyina ne muwala we batyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Buli muntu agera engero anaakugereranga olugero luno ng'agamba nti, ‘Nga nnyina, ne muwala we bw'atyo.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Abantu balikugerako olugero luno, ggwe Yerusaalemu nti: ‘Omuwala ne nnyina be bamu.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, buli muntu agera engero anaakugereranga olugero luno ng'ayogera nti Nga nnyina ne muwala we bw'atyo.