Ezekiel 16:45 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oli muwala wa nnyoko ddala akuzaala, oyo eyanyooma bba n'abaana be; era oli ddala muganda wa bawala banno, abo abaanyooma babbaabwe n'abaana baabwe. Nnyoko yali Mukitti, ate kitaawo Mwamori.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oli muwala wa nnyoko ddala, eyanyooma bba n’abaana be, era oli mwannyina ddala owa baganda bo abanyooma ba bbaabwe n’abaana baabwe. Nnyoko yali Mukiiti, kitaawo nga Mwamoli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oli muwala wa nnyoko atamwa bba n'abaana be; era oli wa luganda ne baganda bo abatamwa babbaabwe: nnyammwe yali Mukiiti, ne kitammwe yali Mwamoli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala oli muwala wa nnyoko, eyatamwa bba n'abaana be. Era oli nga baganda bo, abaakyawa babbaabwe n'abaana baabwe. Nnyammwe yali Muhiiti, ne kitammwe yali Mwamori.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oli muwala wa nnyoko atamwa bba n'abaana be; era oli wa luganda ne baganda bo abatamwa ba bbaabwe: nnyammwe yali Mukiiti, ne kitammwe yali Mwamoli.