Ezekiel 16:48 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze nga ndi mulamu, Omukama Katonda y'agamba, muganda wo Sodoma ne bawala be tebakolanga ggwe ne baganda bo kye mwakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, muganda wo Sodomu ne bawala be tebaatuuka ku ssa, ggwe ne bawala bo kwe mwatuuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, muganda wo Sodomu ne bawala be tebaakola nga ggwe bw'okoze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Ndayira nti nga bwe ndi omulamu, muganda wo Sodoma n'obubuga bwe, tebaakola nga ggwe n'obubuga bwo bye mukoze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, muganda wo Sodomu takolanga, ye newakubadde bawala be, nga ggwe bw'okoze, ggwe ne bawala bo.