Ezekiel 16:49 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino kye kibi kya muganda wo Sodoma: Ye ne bawala be baali beekuza, abekkusa bokka, abeetuulidde entende; bw'atyo bwe yali ne bawala be. Yali omunaku n'omwavu tabasuula mukono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Guno gwe musango muganda wo Sodomu gwe yazza: ye ne bawala be baali baamalala, nga baamululu abatafaayo, wadde okuyamba abaavu abaali mu bwetaavu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Guno gwe musango muganda wo Sodomu gwe yazza, ye ne bawala be baali ba malala kubanga baalina emmere nnyingi n'okwesiima, naye ne batafa ku baavu abaali mu bwetaavu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muganda wo Sodoma n'obubuga bwe, ekibi abaamu kye baakola kyali kya kwekulumbaza kubanga baalina emmere nnyingi, n'emirembe nga beebaka ne beegolola, naye ne batafa ku baavu n'abali mu bwetaavu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, buno bwe bwali obutali butuukirivu bwa muganda wo Sodomu; amalala n'okukkutanga emmere n'okwesiima nga yeegolola byali mu ye ne mu bawala be; so teyanyweza mukono gwa mwavu n'eyeetaaga.