Ezekiel 16:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewali yakutunuulira n'akukwatirwa ekisa, oba ekisaasaazi waakiri ekitono kiti, n'akukolera ebyo, wabula wasuulibwa awo otyo ebweru, kubanga weenyinyalwa okuva ku lunaku lwe wazaalirwako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewali yakusaasira so tewali yakukwatirwa kisa kukukolera ebintu ebyo byonna, naye wasuulibwa ebweru ku ttale, kubanga wanyoomebwa okuva ku lunaku kwe wazaalirwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewali yakusaasira wadde okukwatirwa ekisa okukukolera ebyo byonna, naye wasuulibwa ebweru ku ttale, kubanga wakyayibwa ku lunaku kwe wazaalirwako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewali yakukwatirwa kisa kukukolako wadde ekimu ku ebyo byonna. Bwe wazaalibwa tewali yakwagala. Wasuulibwa bweru mu ttale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tewali liiso eryakusaasira okukukola ku ebyo byonna, okukukwatirwa ekisa; naye n'osuulibwa mu ttale ebweru, kubanga wakyayibwa ggwe ku lunaku kwe wazaalirwa.