Ezekiel 16:51 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samariya ebibi bye yakola tebituuka kyakubiri kya bibi byo; wakola ebyenyinyalwa bingi okumusinga; okulabira ku byenyinyalwa byonna bye wakola, baganda bo obafudde abatuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
So ne Samaliya teyatuuka awo; wakola ebikolwa eby’ekivve okusinga ne bwe baakola, era n’oleetera baganda bo okulabika ng’abatuukirivu mu ebyo byonna by’okola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So ne Samaliya takolanga kitundu kya ku bibi byo; naye ggwe wayongera ku mizizo gyo okukira bo, n'oweesa obutuukirivu baganda bo olw'emizizo gyo gyonna gyewakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“N'ab'e Samariya tebaakola wadde ekimu ekyokubiri eky'ebibi byo. Okoze ebyenyinyalwa bingi okusinga bye baali bakoze. Ebibi byonna bye wakola bw'obigeraageranya n'ebya baganda bo, bo balabika ng'abatalina musango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So ne Samaliya takolanga kitundu kya ku bibi byo; naye ggwe wayongera ku mizizo gyo okukira bo, n'oweesa obutuukirivu baganda bo olw'emizizo gyo gyonna gye wakola.