Ezekiel 16:52 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno fa ensonyi, ggwe eyejjeereza baganda bo olw'okubeera nga mu kwonoona kwo weeyisa mu ngeri eyeenyinyalwa n'okubasinga. Awo nno swala, ofe ensonyi, kubanga baganda bo wabawa okuba abatuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano naawe k’ojjule ensonyi, kubanga owolereza baganda bo, ate n’ebibi bye wakola biswaza okusinga ebyabwe, kyebaliva balabika nga batuukirivu okukusinga. Kyonoova oswala, ne weetikka obuswavu bwo, kubanga oleetedde baganda bo okulabika ng’abatuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era naawe beerako ensonyi zo ggwe, kubanga osaze omusango baganda bo okukusinga; olw'ebibi byo bye wakola eby'emizizo okukira bo kyebavudde bakusinga obutuukirivu: weewaawo, era swala obeereko ensonyi zo kubanga oweesezza baganda bo obutuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano ojja kugumira ensonyi zo. Ebibi byo byenyinyalwa okusinga ebya baganda bo, ne balabika nga balungi okukusinga. Kaakati swala ofe ensonyi, kubanga olaze nti bo baganda bo balungi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naawe beerako ensonyi zo ggwe, kubanga osaze omusango baganda bo okusinga; olw'ebibi byo bye wakola eby'emizizo okukira bo kyebavudde bakusinga obutuukirivu: weewaawo, era swala obeereko ensonyi zo kubanga oweesezza baganda bo obutuukirivu.