Ezekiel 16:53 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ndikomyawo abasibe ba Sodoma ne bawala be, n'abasibe ba Samariya ne bawala be, n'abasibe bo wamu n'abaabwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Wabula ndizzaawo obugagga bwa Sodomu ne bawala be, n’obwa Samaliya ne bawala be, ate ne nzizaawo n’obubwo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndikomyawo obusibe bwabwe, obusibe bwa Sodomu ne bawala be, n'obusibe bwa Samaliya ne bawala be, n'obusibe bw'abasibe bo abali wakati mu bo:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Yerusaalemu nti: “Ndikomyawo abantu baabwe okuva mu buwaŋŋanguse: aba Sodoma n'obubuga bwakyo, n'aba Samariya n'obubuga bwakyo. N'ababo ndibakomyawo wamu nabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndikomyawo obusibe bwabwe, obusibe bwa Sodomu ne bawala be, n'obusibe bwa Samaliya ne bawala be, n'obusibe bw'abasibe bo abali wakati mu bo: