Ezekiel 16:55 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne muganda wo Sodoma ne bawala be baliddamu okuba nga bwe baabanga mu kusooka, ne Samariya ne bawala be baliddamu okuba nga bwe baabanga mu kusooka, naawe ne bawala bo muliddamu okuba nga bwe mwabanga mu kusooka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baganda bo, Sodomu wamu ne bawala be, ne Samaliya wamu ne bawala be baliddayo nga bwe baali edda, ate naawe oliddayo n’obeera nga bwe wali edda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era baganda bo, Sodomu ne bawala be, balidda mu bukulu bwabwe obw'edda, naawe ne bawala bo mulidda mu bukulu bwammwe obw'edda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baganda bo Sodoma ne Samariya n'obubuga bwabyo baliddawo mu mbeera yaabwe ey'edda, era naawe wamu n'obubuga bwo, oliddawo mu mbeera yo ey'edda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era baganda bo, Sodomu ne bawala be, balidda mu bukulu bwabwe obw'edda, ne Samaliya ne bawala be balidda mu bukulu bwabwe obw'edda, naawe ne bawala bo mulidda mu bukulu bwammwe obw'edda.