Ezekiel 16:59 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Nzija kukuyisa nga ggwe bwe wakola, kubanga wagaya ekirayiro ng'omenya endagaano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndikukola nga bwe kikusaanira, kubanga wanyooma ekirayiro kyange, bwe wamenya endagaano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ndikukolera ddala nga bw'okoze, ggwe eyanyooma ekirayiro n'omenya endagaano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Nja kukuyisa nga bw'osaanidde ggwe, anyooma kye weeyama, n'omenya endagaano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ndikukolera ddala nga bw'okoze, ggwe eyanyooma ekirayiro n'omenya endagaano.