Ezekiel 16:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Mba mpitawo, ne nkulaba ng'ovuyira mu musaayi gwo, ne nkugamba ng'oli awo nti: “Ba mulamu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Bwe nnali nga mpitaayita ne nkulaba ng’osambagala mu musaayi gwo, ne nkugamba nti, “Ba mulamu!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe nnali nga mpitawo, ne nkulaba nga weekulukuunya mu musaayi gwo, ne nkugamba nti Newakubadde ng'oli mu musaayi gwo, ba mulamu:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“ ‘Nze bwe nali mpitawo, ne nkulaba ng'osambagalira mu musaayi gwo. Ng'okyali mu musaayi gwo ogwo, ne nkugamba nti sijja kukuleka kufa, ba mulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe nnakuyitako ne nkulabanga weekulukuunya mu musaayi gwo, ne nkugamba nti Newakubadde ng'oli mu musaayi gwo, ba mulamu: weewaawo, ne nkugamba nti Newakubadde ng'oli mu musaayi gwo, ba mulamu.