Ezekiel 16:63 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
olwo ojjukire, ensonyi zikukwate, olwo toliddamu kwasamya kamwa ko olw'ensonyi bwe ndimala okukusonyiwa byonna bye wakola, y'agamba Omukama Katonda.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’oluvannyuma olw’okutangiririrwa, olijjukira ne wejjusa n’otaddayo kwasamya nate kamwa ko, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwendikusonyiwa byonna bye wakola, olijjukira n'okwatibwa ensonyi, n'olemwa n'okubaako kyoyogera, bw'ayogera Mukama Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndikusonyiwa byonna bye wakola, olibijjukira n'okwatibwa ensonyi, n'olemwa n'okubaako ky'oyogera olw'okuswala.” Mukama Afugabyonna bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
olyoke ojjukire n'oswala n'olema okwasama nate akamwa ko olw'ensonyi zo; bwe ndimala okukusonyiwa byonna bye wakola, bw'ayogera Mukama Katonda.