Ezekiel 16:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nayitawo ne nkulaba; bwe nalaba nga wali otuuse okuganza, ne nkwanjululizaako ekiwenge ky'omunagiro gwange ne mbikka obwereere bwo. Nakulayirira, ne nkola endagaano naawe, Omukama Katonda y'agamba, n'ofuuka wange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Oluvannyuma lwa bbanga, bwe nnali nga mpitaayita, ne nkulengera ne ndaba ng’okuze era ng’otuuse okufumbirwa, ne nkwaliirako ekirenge kyange ne mbikka ku bwereere bwo; ne nkulayirira ne nkola naawe endagaano, bw’ayogera Mukama Katonda, n’ofuuka wange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe nnali nga mpitawo ne nkutunuulira, ne nkulaba ng'otuusiza ekiseera kyo eky'okufumbirwa, ne nkubikkako omunagiro gwange oleme kusigala ng'oli bwereere; nnakulayirira ne nkola naawe endagaano, bw'ayogera Mukama Katonda, n'ofuuka wange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“ ‘Era bwe nali nga mpitawo ne nkulaba ng'otuusizza ekiseera eky'okwogerezebwamu, ne nkubikkako omunagiro gwange oleme kusigala ng'oli bwereere. Weewaawo nakola naawe endagaano ey'okufumbiriganwa, n'ofuuka wange.’ ” Mukama Afugabyonna, bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe nnakuyitako ne nkutunuulira, laba, ekiseera kyo nga kye kiseera eky'okwagalirwamu; ne nkwaliirako ekirenge kyange ne mbikka ku bwereere bwo: weewaawo, ne nkulayirira, ne ndagaana naawe endagaano, bw'ayogera Mukama Katonda, n'ofuuka wange.