Ezekiel 17:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Gamba ennyumba eno enjeemu nti: ‘Mumanyi ebyo kye bitegeeza?’ Bagambe nti: ‘Kabaka w'e Babiloni wuuyo yajja e Yeruzaalemu n'akwata bakabaka n'abakungu be, n'abaleeta ewuwe e Babiloni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Gamba ennyumba enjeemu eyo nti, ‘Temumanyi bintu ebyo kye bitegeeza?’ Bategeeze nti, ‘Kabaka w’e Babulooni yagenda e Yerusaalemi, n’awamba kabaka waayo n’abakungu be n’abatwala e Babulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Gamba nno ennyumba enjeemu nti, ‘Temumanyi bigambo bino kye bitegeeza?’ Babuulire nti kabaka w'e Babbulooni yajja e Yerusaalemi n'awamba kabaka waayo n'abakungu baayo n'abatwala e Babbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Buuza abantu b'eggwanga lino ejjeemu, oba nga bategeera amakulu g'olugero luno. Babuulire nti Kabaka w'e Babilooniya yajja e Yerusaalemu n'awamba Kabaka waayo n'abakungu baayo, n'agenda nabo, n'addayo e Babilooniya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gamba nno ennyumba enjeemu nti Temumanyi bigambo bino amakulu gaabyo bwe gali? babuulire nti Laba, kabaka w'e Babulooni yajja e Yerusaalemi n'awamba kabaka waayo n'abakungu baayo n'abaleeta gy'ali e Babulooni;