Ezekiel 17:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'addira omu ku b'omu nnyumba ya kabaka n'akola naye endagaano, n'amulayiza, naye abakungu mu nsi n'abatwala,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’oluvannyuma n’addira omu ku balangira n’akola naye endagaano, ng’amulayiza. Yatwala n’abasajja abalwanyi abazira ab’omu nsi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'addira omu ku balangira n'akola naye endagaano, era n'amulayiza okuba omwesigwa gy'ali. N'aggyayo abantu ab'amaanyi ab'omu nsi eyo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'atwala omu ku b'olulyo olulangira, n'akola naye endagaano, era n'amulayiza okuba omwesigwa gy'ali. N'aggyayo abantu ab'amaanyi ab'omu nsi eyo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era n'atwala ku zzadde lya kabaka, n'alagaana naye endagaano; era n'amulayiza ekirayiro, n'aggyayo ab'amaanyi ab'omu nsi: