Ezekiel 17:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kabaka n'amujeemera bwe yatuma ababaka e Misiri bamuwe embalaasi n'eggye eddene. Naye anaawangula? Akola ebintu ng'ebyo awona? Anaamenya endagaano n'aluwona?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kabaka yamujeemera, n’aweereza ababaka e Misiri okufunayo embalaasi n’eggye eddene. Aliraba omukisa? Omuntu akola ebyo ayinza okuba omulamu? Alimenya endagaano n’awona?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye n'amujeemera ng'atuma ababaka be mu Misiri, bamuwe embalaasi n'abantu bangi. Aliraba omukisa? aliwona oyo akola ebifaanana bwe bityo? Alimenya endagaano, n'awona?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Kabaka wa Buyudaaya n'ajeema, n'atuma ababaka be mu Misiri, okufunayo embalaasi n'eggye eddene. Kabaka oyo aliba bulungi? Omuntu akola ebiri ng'ebyo ayinza okuwona? Ayinza okumenya endagaano, n'atabonerezebwa?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'amujeemera ng'atuma ababaka be mu Misiri, bamuwe embalaasi n'abantu bangi. Aliraba omukisa? aliwona oyo akola ebifaanana bwe bityo? alimenya endagaano, era naye n'ewona?