Ezekiel 17:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze nga ndi mulamu, Omukama Katonda kino ky'agamba, alifiira mu Babiloni, mu nsi ya kabaka oyo eyamufuula kabaka, ow'ekirayiro kye yanyooma, olw'endagaano gye yamenya gye yali akubye naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, alifiira mu Babulooni, mu nsi eya kabaka eyamufuula kabaka, gwe yanyooma mu kirayiro kye n’amenya n’endagaano gye baakola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, mazima alifiira mu Babbulooni, mu nsi ya kabaka eyamufuula kabaka, gwe yanyooma mu kirayiro kye n'amenya endagaano gye yakola naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Ndayira nti nga bwe ndi omulamu, kabaka oyo alifiira Babilooniya, kubanga yamenya endagaano gye yakola ne Kabaka w'e Babilooniya eyamuteeka ku ntebe y'obwakabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, mazima mu kifo kabaka mw'abeera eyamufuula kabaka, gwe yanyoomako ekirayiro kye n'amenya endagaano ye, oyo gy'ali wakati mu Babulooni gy'alifiira.