Ezekiel 17:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga yagaya ekirayiro n'amenya endagaano, n'olw'okubeera nga yali yeeyamye n'omukono gwe ate n'akola ebyo byonna, si wa kuluwona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okunyooma ekirayiro kye, n’amenya endagaano, n’akola ebintu ebyo byonna ate nga yeewaayo, kyaliva tawona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga yanyooma ekirayiro ye yennyini kye yakola, n'amenya endagaano ey'okuba omwesigwa, n'akola ebyo byonna, kyaliva tawona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Taliwona kubanga yanyooma ekirayiro ye yennyini kye yakola, n'amenya endagaano ey'okuba omwesigwa, n'akola ebyo byonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga anyoomye ekirayiro ng'amenya endagaano; era, laba, yali awadde omukono gwe, era naye akoze ebyo byonna; taliwona.