Ezekiel 17:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Awo nno Omukama Katonda kino ky'agamba: Nze nga ndi mulamu, ekirayiro kyange kye yagaya n'endagaano yange gye yamenya nzija kubissa ku mutwe gwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘ Mukama Katonda kyava ayogera bw’ati nti, Nga bwe ndi omulamu, ndireeta ku mutwe gwe ekirayiro kye yanyooma, n’endagaano yange gye yamenya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti, Nga bwe ndi omulamu, mazima ndimubonereza olw'ekirayiro kyange kye yanyooma n'olw'endagaano yange gye yamenya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Mazima ndayira nti nga bwe ndi omulamu, ndimubonereza olw'okumenya endagaano gye yakola ng'alayira erinnya lyange nti aligituukiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Nga bwe ndi omulamu, mazima ekirayiro kyange ky'anyoomye n'endagaano yange gy'amenye ndibituusa n'okubituusa ku mutwe gwe ye.