Ezekiel 17:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kumutaayiza n'ekitimba kyange, alikwatibwa mu mutego gwange, ndimutwala e Babiloni, eyo gye ndimusalira omusango olw'obutabeera mwesigwa gye ndi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndimutegera akatimba kange, n’agwa mu mutego gwange, era ndimuleeta e Babulooni ne musalira omusango olw’obutali bwesigwa bwe gye ndi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndimutega ne musuulako ekitimba kyange, ne mmutwala e Babbulooni, ne mmubonerereza eyo olw'ekyonoono kye kye yannyonoona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndimutega ne mmukwasa mu kitimba kyange, ne mmutwala e Babilooniya, ne mmubonerereza eyo, kubanga yagaana, okuba omwesigwa gye ndi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndimusuulako ekitimba kyange, era ndimutwala e Babulooni, era ndiwoleza naye eyo olw'ekyonoono kye kye yannyonoona.