Ezekiel 17:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna abalondobe ab'omu ggye lye balifa ekitala, ate abaliwonawo balisaasaanyizibwa mu nsonda zonna; olwo mulimanya nti nze Omukama njogedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaserikale be bonna abaliba badduka, balifa ekitala, n’abaliwonawo balisaasaanyizibwa empewo; olwo olitegeera nga nze Mukama, nze nkyogedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'omu ggye bonna abaliba badduka, baligwa n'ekitala, n'abo abalisigalawo balisaasaanyizibwa eri empewo zonna: kale mulimanya nga nze Mukama nze njogedde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu magye ge abadduka, balittirwa mu lutalo, n'abo abalisigalawo balibuna emiwabo. Olwo mulimanya nga nze Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abadduse be bonna mu bibiina bye byonna baligwa n'ekitala, n'abo abalisigalawo balisaasaanyizibwa eri empewo zonna kale mulimanya nga nze Mukama njogedde.