Ezekiel 17:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: “ ‘Nange kennyini ndinojjola akasanso okuva ku ssanso ly'entolookyo, ne nkasimba. Ndinokola akatabi okuva mu busanso ku mutwe ne nkasimba ku lusozi oluwanvu, olutumbiivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nze kennyini ndiddira ettabi okuva ku busongezo bw’omuvule ne ndisimba; era ndimenya amasanso okuva ku matabi gaagwo amato ne ndisimba ku lusozi oluwanvu olugulumivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, “ Era nditwala ku busongezo obwa waggulu obw'omuvule ne mbusimba; ndinogako ku masanso gaagwo amato agakomererayo essanso erimu eggonvu, era ndirisimba ku lusozi oluwanvu olugulumivu:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna agamba nti: “Nditwala akatabi akato akasembayo waggulu ku mutwe gw'omuvule, ne nkasimba ku lusozi oluwanvu olugulumivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Era nditwala ku busongezo obwa waggulu obw'omuvule ne mbusimba; ndinogako ku masanso gaagwo amato agakomererayo essanso erimu eggonvu, era ndirisimba ku lusozi oluwanvu olugulumivu: