Ezekiel 17:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kukasimba ku katemyo k'olusozi lwa Yisirayeli; kalisuuliza amatabi ne kabala ebibala; kalifuuka ntolookyo ey'ekitiibwa. Buli kinyonyi kirisula wansi waayo; buli kibuuka kiribudama mu kittuluze kyayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku ntikko ey’olusozi lwa Isirayiri kwe ndirisimba era lirireeta amatabi ne libala ebibala, ne gaba omuvule ogwegombesa. Ennyonyi eza buli kika ziriwummulira ku gwo, era zirifuna we zituula mu bisiikirize eby’amatabi gaagwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ku lusozi olw'entikko ya Isiraeri kwe ndirisimba: kale lirisuula amatabi ne libala ebibala, ne guba omuvule omulungi: era wansi waagwo wanaabeeranga ennyonyi zonna ez'ebiwaawaatiro byonna; mu kisiikirize eky'amatabi gaagwo we zinewogomanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lusozi lwa Yisirayeli olusingira ddala obuwanvu kwe ndikasimba, kakule kasuule amatabi era kabale ebibala, kafuuke omuti amakula; ebinyonyi ebya buli ngeri bijje byewogomenga mu kisiikirize ky'amatabi gaagwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ku lusozi olw'entikko ya Isiraeri kwe ndirisimba kale lirisuula amatabi ne libala ebibala, ne guba omuvule omulungi era wansi waagwo wanaabeeranga ennyonyi zonna ez'ebiwaawaatiro byonna; mu kisiikirize eky'amatabi gaagwo we zinaatuulanga.