Ezekiel 17:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bagambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: “ ‘Empungu ennene, ey'ebiwaawaatiro eby'amaanyi, ey'ebyoya ebyegoogodde, ey'omwoya ogwa langi entobeke, yajja ku Lebanoni, n'ewamba essanso ly'entolookyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Waaliwo empungu ennene eyalina ebiwaawaatiro ebinene, ng’erina ebyoya bingi, nga by’amabala agatali gamu, eyajja mu Lebanooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Empungu ennene erina ebiwaawaatiro ebinene n'ebiwaawa ebiwanvu, ng'erina ebyoya bingi, eby'amabala agatali gamu, nejja ku Lebanooni, n'etwala obusongezo bw'omuvule:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
bamanye Nze Mukama Afugabyonna kye mbagamba: Empungu ennene, erina ebyoya ebingi ebya langi ennyingi, erina n'ebiwaawaatiro ebinene era ebiwanvu, yajja ku lusozi Lebanooni, n'eggyayo akatabi akasembayo waggulu ku mutwe gw'omuvule.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oyogere nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Empungu ennene erina ebiwaawaatiro ebinene n'ebiwaawa ebiwanvu eriko ebyoya bingi, ey'amabala agatali gamu, yajja ku Lebanooni, n'etwala obusongezo bw'omuvule: