Ezekiel 17:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yanojjolako akasanso n'ekatwala mu nsi y'abasuubuzi, n'ekateeka mu kibuga ky'abatunzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’eddira obusongenzo bw’omuvule n’emenyako amasanso gaagwo agasooka waggulu amato, n’egwetikka n’egutwala mu nsi ey’abasuubuzi n’egusimba mu kibuga ky’abatunda ebyamaguzi.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
yanogako amasanso gaagwo amato agakomererayo, n'eguggyayo n'egutwala mu nsi ey'obusuubuzi, ne gusimba mu kibuga ky'abasuubuzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ekatwala mu nsi erimu obusuubuzi, n'ekasimba mu kibuga ky'abasuubuzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
yanogako amasanso gaagwo amato agakomererayo, n'eguggyayo n'egutwala mu nsi ey'obusuubuzi; yagusimba mu kibuga eky'abasuubuzi.