Ezekiel 17:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era yatwala ku nsigo z'ensi, n'egiteeka mu ttaka eggimu; yagisimba ng'enzibaziba ku mazzi amangi, n'egissa awo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘N’etwala emu ku nsigo ez’ensi eyo, n’egisimba mu ttaka eggimu; n’egisimba okumpi n’amazzi amangi, n’emera n’eba ng’omusafusafu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne twala ne ku nsigo ey'omu nsi, n'egisiga mu ttaka eggimu awali amazzi amangi n'emera n'eba ng'omusafusafu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'etwala n'akalokwa k'omuzabbibu ogw'omu nsi Yisirayeli, n'ekasimba mu ttaka eggimu awali amazzi amangi agaakayamba okukula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era yatwala ne ku nsigo ey'omu nsi, n'egisiga mu ttaka ggimu; yaguteeka awali amazzi amangi n'egusimba ng'omusafusafu.