Ezekiel 17:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yaleeta omutunsi n'efuuka omuzabbibu ogulandira wansi; amatabi gaagwo ne gagitunuulira, gyo emirandira gyagwo ne gisigala we gwali. Gweyongera amatabi, ne gufuuka omuzabbibu, ne gussaako amakoola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ebala n’efuuka omuzabbibu, ne gulanda wansi; amatabi gaagwo ne gakula nga gadda ewaayo, naye emirandira gyagwo ne gisigala wansi waagwo. Ne gufuuka omuzabbibu ne guleeta amatabi n’ebikoola byagwo.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne gumera ne guba muzabbibu ogulanda omumpimpi, amatabi gaagwo ne gatunula waggulu empungu eyo gy'eri, emirandira ne gisimba wansi mu ttaka. Negufuuka omuzabbibu ne guleeta amatabi, ne gujjula amakoola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne kakwata bulungi, ne kavaamu omuzabbibu ogukulira wansinsi, ne gulanda, ne gwagaagala. Amatabi gaagwo ne gatunula waggulu empungu eyo gy'eri, emirandira ne gisimba wansi mu ttaka. Omuzabbibu ne guleeta amatabi, ne gujjula amakoola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne gumera ne guba muzabbibu ogulanda omumpimpi, amatabi gaagwo ne gagikyukira n'emmizi gyagwo gyali wansi waayo: kale ne guba muzabbibu ne gusuula amatabi, ne gumera amasanso.