Ezekiel 17:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ne wabaawo n'empungu endala ennene, ey'ebiwaawaatiro eby'amaanyi, ebukadde omwoya. Omuzabbibu emirandira gyagwo ne gugitunuuliza empungu, n'amatabi ne gugagisitulira egufukirirenga, nga gusinziira mu kalimiro we gwali gusimbiddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Naye ne wabaawo empungu endala ennene eyalina ebiwaawaatiro ebinene, n’ebyoya ebingi. Omuzabbibu ne gukuza emirandira gyagwo eri empungu eyo okuva mu kifo we gwasimbibwa, ate ne gwanjuluza n’amatabi gaagwo gy’eri egifukirire.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era waaliwo n'empungu ennene endala, eyalina ebiwaawaatiro ebinene n'ebyoya bingi, awo olwatuuka, omuzabbibu ogwo ne guweta emirandira gyagwo okugiggya gye gwali okugiza eri empungu eyo, era ne gukyusa n'amatabi gaagwo gye guli egufukirirenga amazzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Waaliwo n'empungu ennene endala, ng'erina ebiwaawaatiro binene n'ebyoya bingi. Awo olwatuuka, omuzabbibu ogwo ne guweta emirandira gyagwo okugiggya mu nnimiro mwe gwasimbibwa, okugizza empungu eyo endala gy'eri. Ne gukyusa n'amatabi gaagwo okugatunuza gy'eri egufukirirenga amazzi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era waaliwo n'empungu ennene endala, eyalina ebiwaawaatiro ebinene n'ebyoya bingi: kale, laba, omuzabbibu ogwo ne gugiwetera emmizi gyagwo, ne gumera amatabi gaagwo okugenda gy'eri, okuva mu bibibi mwe gwasimbibwa, egufukirire amazzi.