Ezekiel 17:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bagambe nti: ‘Omukama Katonda kino ky'agamba: Gulirama? Terigukuula n'ebibala n'ebikunkumula, n'amakoola agatojjedde ne gawotoka? Okugukuulirawo ddala tekiryetaagisa mukono gwa maanyi, oba bantu bangi?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Gulibeerera? Tegulisigulwa n’amatabi gaakwo ne gatemebwa ne gukala? Tekiryetagisa omukono ogw’amaanyi oba abantu abangi okugusigulayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yogera nti bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Gulibeerera? Tegulisigulwa n'amatabi gaagwo ne gatemebwa ne gukala? Tekiryetaagisa maanyi mangi oba abantu abangi okugusigulayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bagambe nti: ‘Mukama Afugabyonna abuuza nti omuzabbibu ogwo guliba bulungi? Empungu eyagusimba terigukuulayo n'emirandira gyagwo, n'esalako ebibala byagwo, n'amatabi gaagwo, amakoola gaagwo gonna amabisi gawotoke? Tekiryetaagisa na maanyi mangi, wadde abantu abangi okugukuulayo n'emirandira gyagwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Guliraba omukisa? talisimbula mmizi gyagwo, n'asalako ebibala byagwo, guwotoke; amalagala gaagwo gonna amabisi agamera gawotoke; newakubadde nga tewali buyinza bungi newakubadde abantu bangi okugusimbula n'emmizi gyagwo?