Ezekiel 18:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
anyigiriza omunaku n'omwavu, anyakula ebya bandi, omusingo taguzzaayo, asitulira amaaso ebifaananyi bya balubaale, akola ebyenyinyalwa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’anyigiriza omwavu n’omunaku, n’okubba n’abba, n’atasasula kye yeeyama, n’asinza bakatonda abalala, n’akola eby’ekivve,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'alyazaamaanya omwavu n'eyeetaaga, n'abba, n'ataddiza musingo eyamwewolako, n'asinzanga ebifaananyi, n'akola eby'emizizo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwana ayinza okulyazaamaanya abaavu n'abali mu bwetaavu, omuntu amwewolako n'atamuddiza musingo gwe, n'agenda mu masabo, n'asinza ebyo ebitali Nze Katonda, era n'akola ebyenyinyalwa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eyalyazaamaanya omwavu n'eyeetaaga, eyanyaga olw'amaanyi, so atazza musingo, era eyayimusa amaaso ge eri ebifaananyi, eyakola eby'emizizo,