Ezekiel 18:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
awola n'obuliika n'atwala amagoba agayitiridde, oyo alirama? Talirama. Nga bwe yamala n'akola ebyo byonna ebyenyinyalwa, wa kuttibwa, n'omusaayi gwe gulibeera ku mutwe gwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’awola ng’asuubira amagoba, oba n’okutwala ensimbi ezisukka mu ezo ze yawola; omuntu ng’oyo aliba mulamu? Taliba mulamu. Kubanga akoze ebintu ebyo byonna eby’ekivve, kyaliva attibwa, n’omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
eyawolanga olw'amagoba, era eyatwalanga ensimbi ezisuka mu ezo ze yawola, oyo aliba mulamu? Taliba mulamu: akoze eby'emizizo bino byonna: talirema kufa; omusaayi gwe guliba ku ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'awola ensimbi olw'okufuna amagoba n'okwegaggawaza. Oyo aliba mulamu? Nedda, taliba mulamu. Akoze ebyenyinyalwa ebyo byonna, talirema kufa, nga ye yennyini ye yeereetedde okufa okwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eyawolanga olw'amagoba, era eyakkiriza ebisukkirira: kale aliba mulamu ono? taliba mulamu: akoze eby'emizizo bino byonna: talirema kufa; omusaayi gwe guliba ku ye.