Ezekiel 18:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Naye singa azaala omwana, n'alaba ebibi byonna ebya kitaawe by'akola, naye ye n'atya, n'atakola kye kimu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye bw’aba n’omuzzukulu, alaba ebibi byonna kitaawe by’akola, n’atakola bya ngeri eyo;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bw'alizaala omwana, nnalaba ebibi byonna ebya kitaawe bye yakola, ye n'atya n'atakola ebifaanana bwe bityo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye ka tugambe nti ow'engeri eyo alina omwana, omwana n'alaba ebibi kitaawe by'akola, wabula n'atya, ye n'atabikola:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, bw'alizaala omwana, alaba ebibi byonna ebya kitaawe bye yakola, n'atya n'atakola ebifaanana bwe bityo,