Ezekiel 18:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'ataliira ku nsozi, n'atasitulira maaso ge bifaananyi bya balubaale eby'ennyumba ya Yisirayeli, n'atagwagwawaza muka munne,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“N’atalya mu masabo agali ku nsozi newaakubadde okusinza bakatonda abalala ab’ennyumba ya Isirayiri, n’atayenda na mukazi wa muliraanwa we,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nataliira ku nsozi, natayimusanga maaso ge eri ebifaananyi eby'ennyumba ya Isiraeri, natayonoonanga mukazi wa munne,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'atasinza bitali Nze Katonda, ab'Eggwanga lya Yisirayeli bye basinza, era n'ataliira ku nsozi bye babitambirira; n'atasigula muka munne,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ataliiranga ku nsozi, so atayimusanga maaso ge eri ebifaananyi eby'ennyumba ya Isiraeri, atayonoonanga mukazi wa munne,